Embeera ya Kiyumba Health centre IV yenyamiza ,abakazi n’abasajja bonna bateekebwa mu kisenge kimu
Embeera y’eddwaliro li Kiyumba Health centre IV mu gombolola ye Nyendo – Mukungwe mu Kibuga Masaka yenyamiza anti eddwaliro lino abakazi n’abasajja bonna bateekebwa mu waadi emu. Wano abalwadde webasabidde abakulira eby’ebulamu mu kibuga Masaka nga kwotadde ne gav’t okudduukirira eddwaliro lino. Wabula akulira eby’obulamu mukibuga Masaka agamba obuzibwa bwa ttaka kuba gav’t tekyateeka nkulaakulana […]